Don't scroll, search for it here...

Conjolted Poetry

Conjolted Poetry

Thursday, 28 June 2018

Nalulungi wa balungi

Nalulungi wa balungi 

Nkulaba engeri jewesembeza,
Mpola mpola olinga ekovu kulusubi,
Libanga elyewunza nga terinatuuka, 
Naye olisanga lyewomya lituse mukifo, 
Lyona lisazeko terimanyi nantuuyo! 

Mwana gwe enkulaba engeri jyo yingira wo, 
Wena- wena wesiseh olinga kimbo! 
Akawowo kansuseeko kumbe ndi mukisibo, 
Sagala kulya naye onkema olinga enkoko, 
Kyoka wenkulya omukwano gujya kwekuba lock nge empingo! 

Lwaki onzijako eza yesu, lwaki ontinkula?
lwaki wetijisa mwatu, lwaki wemola? 
Lwaki tompamu waazi, yeh lwaki tontya? 
lwaki osazewo kunsota, lwaki tolinya musota?
Lwaki olonze enze njakwokya, lwaki toonta?

Nkulaba engeri jewesembeza,
Mpola mpola olinga ekovu kulusubi,
Libanga elyewunza nga terinatuuka, 
Naye olisanga lyewomya lituse mukifo, 
Lyona lisazeko terimanyi nantuuyo

Mwana gwe sagade kwagala, 
Silwakuba neyagala naye ekitufu ndi fala, 
Nze omu kubasaja aba papa okumala, 
Nanti obuwomi buwunza bubanga obuku kubyemu eetala,
Ateh omutwe jeguli, guli mukulinya daalah

Lwaki onkuba engine nga sagala tandiika? 
Lwaki opapuka okulya ng'emere sinajula
Lwaki oduka embiiro nga sinafuwa firimbi? 
Lwaki weyisah ngo mwana ku kiiro mo? wena ojude akasigiri
Lwaki oluleeta kunsanfu nkwewunya oba nkukoleh leh ki?

Nkulaba engeri jewesembeza,
Mpola mpola olinga ekovu kulusubi,
Libanga elyewunza nga terinatuuka, 
Naye olisanga lyewomya lituse mukifo, 
Lyona lisazeko terimanyi nantuuyo

Ntandise okutya kuba wekuba kwagala,
Mukwano watu osuse... 
mubuguminkiriza teri akusiinga olinga ejinja elitude! 
Mukufaayo abalala bamanyi kwefaako baanno nebaja luvanyuma, 
Naye gwe wofa kubalala werabira nti olina okwefako.

Nalulungi wa balungi simanyi kuwa mukwano, 
Okwesiga nesiga nyo nabitya nafuka mutitizi Kati mbitekamu empisi, 
Omukwano gwo nagugwa byanema okutegera bilinga emmati
Nagezako okwegata nomulala twesanga tweyawude

Nalulungi, kitondeka? 
Engeri jenkwata mu ebintu biba biwede sinataandiika! 
Nalulungi, kitondeka? 

No comments:

Post a Comment